Tuesday, July 5, 2016

WUUNO OMUSAJJA EYATTA DOREEN TASHOBYA AKABIDDE MU KKOOTI, ASIBIDDWA EMYAKA 4



Omulamuzi wa kkooti Entebbe Mary Kaitesi asalidde omusajja eyali avuga emmotooka eyatta muwala w'omubaka Entebbe Rose Tumusiime, Doreen Tashobya okusibwa emyaka 4 n'ekitundu.

Omusajja Fred Sekibengo yali avuga tippa magulukkumi namba UAT 872J natomera bodaboda Tashobya kwe yali atambulira n'omukozi w'awaka Patrick Busingye era bonna nebafirawo ku luguudo lw'ENtebbe

Omulamuzi Kaitesi agambye nti asalidde Sekibengo emyaka 4 n'ekitundu kuba akiriza emisango gyona egyali gyamugulwako ate yaremereddwa okusasula obukadde 2 n'emitwalo 90 ezali zimulagiddwa.


No comments:

Post a Comment